Job 4

Erifaazi Ayogera

1Awo Erifaazi Omutemani n’ayanukula ng’agamba nti,

2 a“Omuntu bw’anaayogera naawe onoonyiiga?
Naye ani ayinza okusirika obusirisi?
3 bLaba, wayigiriza bangi,
emikono eminafu wagizzaamu amaanyi.
4 cEbigambo byo byanyweza abaali bagwa,
era ng’ozzaamu amaanyi amaviivi agaali gakankana.
5 dNaye kaakano kikutuuseeko, oweddemu amaanyi;
kikutte ku ggwe n’oggwaawo!
6 eOkutya Katonda wo si bwe bwesige bwo,
n’obwesimbu bwo si ly’essuubi lyo?

7 f“Kaakano lowooza; ani ataliiko musango eyali azikiridde?
Oba wa abatuukirivu gye baali bamaliddwawo?
8 gOkusinziira ku kyendabye; abo abateekateeka okukola ebibi era ne basiga ebitali bya butuukirivu,
bakungula bizibu.
9 hBazikirizibwa omukka Katonda gw’assa,
bamalibwawo obusungu bwe.
10 iOkuwuluguma kw’empologoma, n’eddoboozi ly’empologoma enkambwe,
n’amannyo g’empologoma ento gamenyeka.
11 jEmpologoma ey’amaanyi ezikirira olw’okubulwa omuyiggo,
n’obwana bw’empologoma busaasaana.

12 k“Nategeezebwa ekigambo eky’ekyama,
ne nkitegera okutu.
13 lWakati mu birowoozo n’okwolesebwa kw’ekiro
ng’otulo otungi tukutte omuntu,
14 mokutya n’okukankana byankwata ne bireetera amagumba gange okunyegenya.
15Omwoyo gw’ayita mu maaso gange,
obwoya bw’oku mubiri gwange ne buyimirira.
16Ne buyimirira butengerera,
naye saasobola kwetegereza ndabika yaabwo,
n’ekifaananyi kyali mu maaso gange, ne wabaawo akasiriikiriro,
ne ndyoka mpulira eddoboozi nga ligamba nti,
17 n‘Omuntu afa ayinza okuba omutuukirivu okusinga Katonda?
Omuntu ayinza okuba omulongoofu okusinga Omutonzi we?
18 oObanga abaddu be tabeesiga,
nga bamalayika be abalanga ensobi
19 pkale kiriba kitya,
abo abasula mu z’ebbumba ezirina emisingi egiri mu nfuufu,
ababetentebwa n’okusinga ekiwojjolo?
20 qBamalibwawo wakati w’amakya n’akawungeezi,
bazikirira emirembe n’emirembe awatali abafaako.
21 rOmuguwa gwa weema yaabwe gusimbulwa munda,
ne bafa ng’abasirusiru.’ ”
Copyright information for LugEEEE